1 Chronicles 6:71 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasibuka mu Gerusomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggibwa mu kitundu eky'ebuvanjuba ekyaweebwa ekika kya Manase: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asutaloosi n'amalundiro gaakyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibuka mu Gerusoomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asitarooti n'amalundiro gaakyo;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Gerusomu ne baweebwa ebyaggibwa ku nda y'ekitundu ky'ekika kya Manase, Golani mu Basani n'ebyalo byako, ne Asutaloosi n'ebyalo byako: