1 Chronicles 6:76 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mu kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'amalundiro gakyo, Kammoni n'amalundiro gakyo, ne Kiriyasayimu n'amalundiro gakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebyaggyibwa ku Kika kya Nafutaali: Kedesi, eky'omu Galilaaya, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Hammoni n'amalundiro gaakyo, ne Kiriyatayiimu n'amalundiro gaakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'ebyalo byako, ne Kammoni n'ebyalo byako, ne Kiriyasayimu n'ebyalo byako.