1 Chronicles 6:77 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'amalundiro gakyo, Taboli n'amalundiro gakyo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibuka mu Merari abaali batannafuna bibuga, ne baweebwa bino ebyaggyibwa ku Kika kya Zebbulooni, Rimmoni n'amalundiro gaakyo, ne Tabori n'amalundiro gaakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'ebyalo byako, Taboli n'ebyalo byako: