1 Chronicles 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Makiri yawasa omukazi okuva mu Bakuppi n'Abasuppi. Mwannyina yali ayitibwa Maaka. Mutabani we omu omulala yatuumibwa Zelofekadi. Zelofekadi yazaala abaana ab'obuwala babiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka. Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Makiri n'awasa omukazi mwannyina Kuppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi ow'okubiri owa Makiri yali Zerofekadi. Zerofekadi oyo yazaala abaana ba buwala bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Makiri n'awasa omukazi mwannyina Huppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi owookubiri owa Makiri yali Zelofehaadi. Zelofehaadi oyo, yazaala abaana ba buwala bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Makiri n'awasa omukazi ow'oku Kuppimu ne Suppimu, erinnya lya muganda we Maaka;) n'erinnya ly'ow'okubiri lyali Zerofekadi: Zerofekadi n'azaala abaana ba buwala.