1 Chronicles 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Maaka muka Makiri yazaala omwana omulenzi n'amutuuma Peresi. Muganda we yatuumibwa Seresi; batabani b'ono baali Wulamu ne Rakemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Ulamu ne Lakemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Maaka muka Makiri, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Wulamu ne Rakemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Peresi; n'erinnya lya muganda we lyali Seresi; ne batabani be Ulamu ne Lakemu.