1 Chronicles 7:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zabadi mutabani we, ne Sutelaki mutabani we. Ezeri ne Eleyadi battibwa abasajja b'e Gati bwe baali bagenzeeyo okunyaga ente zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera. Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Susera. Efulayimu era yalina batabani abalala babiri: Ezeri ne Ereyaddi abattibwa abasajja ab'e Gaasi bwe bali bagenze okunyaga ente ez'abazaliranwa be nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Sutela. Efurayimu era yalina ne batabani be abalala babiri: Ezeri ne Eleyaadi, abattibwa Abagaati abazaaliranwa b'omu nsi eyo, abajja okubanyagako ente zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Zabadi mutabani we, ne Susera mutabani we, ne Ezeri, ne Ereyaddi, abasajja ab'e Gaasi abaazaalibwa mu nsi be batta, kubanga baaserengeta okubaggyako ebisibo byabwe.