1 Chronicles 7:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeebaka ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi. Efurayimu n'amutuuma Beriya, kubanga mu maka mwali muguddemu eky'ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu neyeegatta ne mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Efurayimu ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, Efurayimu n'amutuuma erinnya Beriya, kubanga akabi kaagwira amaka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingira eri mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.