1 Chronicles 7:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku nsalo y'ekika kya Manasse nga bw'egenda ye waali Beti-Seyani n'ebyalo byakyo, Taanaki n'ebyalo byakyo, Megiddo n'ebyalo byakyo, ne Dori n'ebyalo byakyo. Bazzukulu ba Yozefu mutabani wa Yisirayeli baasulanga mu bibuga bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'awali ensalo ez'abaana ba Manase, Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibuka mu Manasse, baalina Betisaani n'obubuga bwakyo, Taanaki n'obubuga bwakyo, Megiddo n'obubuga bwakyo, ne Doori n'obubuga bwakyo. Ebifo ebyo byonna bye byasengamu abasibuka mu Yosefu, mutabani wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'awali ensalo ez'abaana ba Manase Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.