1 Chronicles 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkalala z'ennyumba za bajjajjaabwe ziraga nti mu bo mwalimu abasajja abatuuse okutabaala emitwalo esatu mu kakaaga, kubanga baalina abakazi bangi n'abaana bangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu egye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga (36,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu eggye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, ebibiina by'omu ggye byali wamu nabo olw'okulwana, obukumi busatu mu kakaaga: kubanga baalina abakazi bangi n'abaana bangi.