1 Chronicles 7:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna baali bazzukulu ba Aseeri: abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja abalondobe, abatabaazi abazira n'abaami abatutumufu. Abasajja abatabaazi enkalala z'endyo zaabwe be zaalaga baali bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna be basibuka mu Aseri, baali bakulu ba nnyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja abazira, abalonde ab'amaanyi nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna baali basibuka mu Aseri, era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe, nga basajja balwanyi bazira abeesigika, era nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baali baana ba Aseri, emitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe, abasajja abazira abalonde ab'amaanyi, ab'olubereberye mu bakulu. N'omuwendo gwabwe ogwabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, olw'okukola omulimu ogw'okulwana, gwali abasajja obukumi bubiri mu kakaaga.