1 Chronicles 7:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abeŋŋanda zaabwe okuva mu masiga gonna aga Yissakari, abasajja abatabaazi abaali ku nkalala z'endyo zaabwe, baali bawera emitwalo munaana mu kasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abasibuka mu Isakaali abasajja abamaanyi abazira baali emitwalo munaana mu kasanvu (87,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkalala entongole ez'amannya g'ab'Ekika kya Yissakaari ziraga abasajja emitwalo munaana mu kasanvu, bonna abaserikale abazira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baganda baabwe bonna, ab'omu luggya lwa Isakaali, nga babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, abasajja ab'amaanyi abazira, baali obukumi munaana mu kasanvu.