1 Chronicles 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benyamiini yazaala Bela omuggulanda we, Asubeli owookubiri, Akara owookusatu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye, Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Benyamini be yazaala abataano nga bwebaddiŋŋanako be bano: Bera, Asuberi, Akala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benyamiini yazaala Bela, ye muggulanda we, owookubiri Asubeeli, owookusatu Ahura,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Benyamini n'azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow'okubiri, ne Akala ow'okusatu;