1 Chronicles 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Elupaali: Eberi, Misamu, Semedi (Semedi yazimba Ono ne Lodi n'ebyalo byakyo),
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Erupaali baali Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Erupaali bali basatu be bano: Eberi, Misamu ne Semedi. Semedi ye yazimba ebibuga Ono ne Loodi n'obubuga obubyetoolodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Elupaali: Eberi, ne Misaamu, ne Samedi. Samedi oyo ye yazimba ebibuga Ono ne Loodi n'obubuga obubyetoolodde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n'ebibuga byako: