1 Chronicles 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beriya ne Sema, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo ababeeranga mu Ayiyaloni; baagobamu abatuuze b'omu Gati;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beriya ne Sema be baali abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Ayalooni. Abo baagenda e Gaasi ne bagobayo abatuuze baayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Beriya ne Sema be baali abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Ayiyalooni. Abo baagenda e Gaati ne bagobayo abatuuze baayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Beriya ne Sema, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi;