1 Chronicles 8:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Mikuloti. Mikuloti yazaala Simewa. Nabo baabeeranga ne baganda baabwe mu Yeruzaalemu mu ddembo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Mikuloosi kitaawe wa Simeeya. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemi wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne Mikilooti kitaawe wa Simeeya. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemu wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikuloosi n'azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe.