1 Chronicles 8:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azeli yalina abaana mukaaga, gano ge mannya gaabwe: Azurikamu, Bokeru, Yisimayeli, Sewariya, Obadiya ne Kanani. Abo bonna be batabani ba Azeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Azeri n'azaala abaana mukaaga be bano; Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azeeli yazaala abaana ab'obulenzi mukaaga, era amannya gaabwe ge gano: Azurikaamu, ne Bokeru, ne Yisimayeli, ne Seyariya, ne Obadiya, ne Hanani. Abo bonna baali batabani ba Azeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri.