1 Chronicles 8:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Wulamu baali batabaazi bazira, nga bamanyi bulungi okulasa akasaale. Baalina abaana bangi n'abazzukulu, bonna awamu kikumi mu ataano. Abo bonna be Babenyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala. Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano (150). Abo bonna baali ba Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Wulamu baali basajja ba maanyi abazira, abakugu mu kulasa obusaale. Baalina abaana n'abazzukulu bangi, bonna awamu kikumi mu ataano. Abo bonna baali ba mu Kika kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini.