1 Chronicles 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna yali muwandiike ku nkalala z'endyo mu kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli. Kati nno abantu ba Yuda baawaŋŋangusirizibwa mu Babiloni olw'obutaba beesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo neziwandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri. Era Yuda yaatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni olw'obutaba beesigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo ne ziwandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli. Abantu b'omu Buyudaaya baali baatwalibwa e Babilooni nga basibe, okubabonereza olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isiraeri yenna ne babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali; era, laba, kwawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri: Yuda n'atwalibwa e Babulooni nga basibe olw'okusobya kwabwe.