1 Chronicles 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'oluganda lwabwe abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baalina obukugu mu kuweereza mu Kiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga (1,760). Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Ssinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baganda baabwe emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, lukumi mu lusanvu mu nkaaga; abasajja abaayinziza ddala omulimu ogw'okuweereza mu nnyumba ya Katonda.