1 Chronicles 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubi, mutabani wa Azurikamu, mutabani wa Kasabiya, ava mu ssiga lya Merari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku baleevi kwaliko: Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemi: Semaaya mutabani wa Kassubu, Kassubu mutabani wa Azulikamu, Azulikamu mutabani wa Kasabiya asibuka mu Merali:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemu: Semaaya mutabani wa Hassubu, Hassubu mutabani wa Azurikaamu, Azurikaamu mutabani wa Hasibiya asibuka mu Merari;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Baleevi; Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya ow'oku batabani ba Merali: