1 Chronicles 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yassibwa ku Wankaaki wa Kabaka ebuvanjuba, gy'ali n'okutuusa kati. Bano be baali abaggazi b'ensiisira z'abazzukulu ba Leevi:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baggazi abaakumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be baggazi abaakuumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
edda abaalindiriranga mu mulyango gwa kabaka ebuvanjuba; be baali abaggazi ab'olusiisira lw'abaana ba Leevi.