1 Chronicles 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sallumu mutabani wa Kore, mutabani wa Abiyasafu, mutabani wa Kora, ne banne abakuumi b'oku mulyango bwe bava mu ssiga lyabwe erya Kora, be baakuumanga emiryango gya Weema nga bajjajjaabwe bwe baakuumanga omulyango gw'Olusiisira lw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sallumu mutabani wa Koole, era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koola, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koola, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama nga be bakuumi b'omulyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sallumu mutabani wa Koore era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koora, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koora, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'Eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama, nga be bakuumi b'omulyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Sallumu mutabani wa Koole, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, ne baganda be ab'omu nnyumba ya kitaawe, Abakoola, be baalabirira omulimu ogw'okuweereza, abaggazi b'enzigi z'eweema: ne bajjajjaabwe be baabanga abakulu b'olusiisira lwa Mukama, abaggazi b'omulyango;