1 Chronicles 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasooka okudda mu butaka bwabwe mu bibuga byabwe baali Bayisirayeli aba bulijjo, bakabona, Abaleevi n'abaweereza b'omu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaasooka okukomawo mu bifo byabwe ne mu bibuga byabwe be bano: Abaisiraeri aba bulijjo, bakabona, Abaleevi, n'abaweereza ab'omu Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaasooka okudda mu bibanja byabwe ne mu bibuga byabwe, baali abamu ku Bayisirayeli abaabulijjo, ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi ab'omu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu abaasooka okubeera mu bifo byabwe bye baalya mu bibuga byabwe be bano, Isiraeri, bakabona, Abaleevi, n'Abanesinimu.