1 Chronicles 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusooka Finekasi mutabani wa Eleyazari ye yali omukulu w'abaggazi, n'Omukama yali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yabanga omukulu waabwe mu biro eby'edda, era Mukama yabanga naye.