1 Chronicles 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bonna abaalonderwa ogw'okuggala emiryango baali ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. Baali ku nkalala z'endyo zaabwe mu byalo byabwe. Dawudi ne Samweli omulabi be baabassa buli omu ku kisanja kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali bibiri mu kkumi na babiri (212). Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu kabaka Dawudi na nnabbi Samwiri be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu Kabaka Dawudi n'omulanzi Samweli be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi ku nzigi baali ebikumi bibiri mu kkumi mu babiri. Abo baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu byalo byabwe, Dawudi ne Samwiri nnabbi be baayawulira omulimu gwabwe ogwateekebwawo.