1 Chronicles 9:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo n'abaana baabwe baali ku gwa kukuuma miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama, ennyumba eya Weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gya Yeekaalu mu mpalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gy'Essinzizo mu mpalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bo n'abaana baabwe ne baba n'omulimu ogw'okulabirira enzigi z'ennyumba ya Mukama, ennyumba ey'eweema, mu bisanja.