1 Chronicles 9:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo abaggazi abakulu abana Abaleevi be baalinanga obuvunaanyizibwa ku bisenge ne ku nkuluze eby'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga abaggazi abana abaasinga obukulu, Abaleevi, baalina omulimu ogwateekebwawo, nga be bakulu b'enju era ab'amawanika mu nnyumba ya Katonda.