1 Chronicles 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasulanga beetoolodde Ekiggwa ky'Omukama kubanga ogw'okukikuuma gwalinga gwabwe. Baalinanga ogw'okukuuma ekisumuluzo n'okuggulawo Ekiggwa buli makya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baasulanga awo nga beetoolodde Yeekaalu, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulangawo buli nkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baasulanga awo nga beetoolodde Essinzizo, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okulikuuma n'ogw'okuliggulangawo buli nkya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basula okwetooloola ennyumba ya Katonda, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulawo buli nkya nga gwe mulimu gwabwe.