1 Chronicles 9:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu abo mwe mwavanga abakola ku bintu ebikozesebwa mu kuweereza; baabalanga omuwendo gwabyo nga bireeteddwa oba nga biggyibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu ku Baleevi bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga nga babikomezzaawo okubitereka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku Baleevi baakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga babikomezzaawo okubitereka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abamu ku bo ne bakwasibwa ebintu ebiweereza okubikuuma; kubanga bwe byayingizibwanga ne bibalibwanga, era bwe byafulumizibwanga ne bibalibwanga.