1 Chronicles 9:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda baabwe abalala mu ssiga lya Kewati baali ku gwa kutegeka buli sabbaato Emigaati egy'Okwolesebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kokasi, be baateekateekanga emigaati emitukuvu egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kohati, be baateekateekanga emigaati egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abamu ku baganda baabwe ku baana ba b'Abakokasi be baalabiriranga emigaati egy'okulaga, okugirongoosanga buli ssabbiiti.