1 Chronicles 9:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayimbi abakulu mu nnyumba z'Abaleevi eza bajjajjaabwe, abaabeeranga mu kigango ky'omu Kiggwa tebaaliko mirimu mirala kubanga baalina okuweerezanga emisana n'ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Yeekaalu, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Ssinzizo, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be bayimbi, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, abaasula mu nju era abaasonyiyibwa okuweereza okulala: kubanga baakolanga omulimu gwabwe emisana n'ekiro.