1 Chronicles 9:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azeli yalina abaana mukaaga; gano ge mannya gaabwe: Azurikamu, Bokeru, Yisimayeli, Sewariya, Obadiya ne Kanani. Bano be batabani ba Azeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe: Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Azeri n'azaala batabani be mukaaga be bano: Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azeli oyo yazaala abalenzi mukaaga, era gano ge mannya gaabwe: Azurikaamu, Bokeru, ne Yisimayeli, ne Seyariya, ne Obadiya, ne Hanani. Abo be baali batabani ba Azeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amanya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani: abo be baali batabani ba Azeri.