1 Corinthians 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbeegayiridde, abooluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, mussenga kimu; mu mmwe muleke kubaamu kwesalaasalamu, wabula mubeerere ddala ba mmeeme emu, ba ndowooza emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganye mwekka na mwekka, okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mube n'omutima gumu n'okulowooza kumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mbeegayirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna mukkiriziganyenga mu bye mwogera, mulemenga kwawukanamu, naye mubenga ba mwoyo gumu n'emmeeme emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.