1 Corinthians 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye ntegeeza kye kino, nti buli omu mu mmwe agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” oba nti: “Nze ndi wa Apollo,” oba nti: “Nze ndi wa Kefa,” oba nti: “Nze ndi wa Kristu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” “nange wa Apolo;” “nange wa Keefa;” “nange wa Kristo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu mu mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, oba nti ndi wa Apollo, oba nti ndi wa Keefa, oba nti ndi wa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; nange wa Keefa; nange wa Kristo: