1 Corinthians 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Stefana. Okuggyako abo, tewali mulala gwe nabatiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana, nate simanyi nga nnabatiza omuntu omulala yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
(Era nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Siteefano. Okuggyako abo, simanyi oba nga nabatizaayo omulala.)
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana: nate simanyi nga nnabatiza omulala yenna.