1 Corinthians 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kristu tantumanga kubatiza, wabula okulangirira Evangili; si mu lulimi olw'ekigezi, sikulwa ng'omusaalaba gwa Kristu guggwaamu ensa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kristo teyantuma kubatiza, wabula yantuma okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, awatali kwesigama ku magezi ag'abantu obuntu, si kulwa ng'omusaalaba gwa Kristo guggwaamu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.