1 Corinthians 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku bazikirira ekigambo ky'omusaalaba kiba busiru; naye ku ffe abalokoka, ge maanyi ga Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo abazikirira; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo ebifa ku musaalaba birabika nga bya busirusiru eri abo abali mu kkubo erigenda mu kuzikirira, naye eri ffe abalokolebwa, biba maanyi ga Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokebwa ge maanyi ga Katonda.