1 Corinthians 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti kyawandiikibwa nti: “Nzija kuzikiriza amagezi g'abagezi; ndiggyawo okutegeera kw'abalabalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g’abagezi, ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kyawandiikibwa nti: “Ndizikiriza amagezi g'abagezi, ne nzigyawo okutegeera kw'abategeevu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.