1 Corinthians 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ya Ekleziya wa Katonda ali mu Korinti, eri abo abaatukuzibwa mu Kristu Yezu, abaayitibwa okubeera abatuukirivu awamu n'abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yezu Kristu buli wantu, Mukama waabwe era owaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo eky'omu Korinto. Mwayitibwa okuba abatukuvu, ne mutukuzibwa mu Kristo Yesu, awamu ne bonna abakoowoola mu buli kifo erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama waabwe era owaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe: