1 Corinthians 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugezi ali ludda wa? Omuwandiisi ali ludda wa? Abawakanyi b'omu mulembe guno baluwa? Amagezi g'ensi eno Katonda tagafudde busiru?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Omugezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow'omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag'ensi eno okuba obusirusiru?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugezi ali ludda wa? Omunnyonnyozi w'amateeka ali ludda wa? Omuwakanyi ow'omulembe guno ali ludda wa? Amagezi g'ensi Katonda tagafudde busirusiru?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugezigezi aluwa? omuwaadiisi aluwa? omuwakanyi ow'omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi?