1 Corinthians 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga okusinziira ku magezi ga Katonda ensi teyamanya Katonda ng'eyita mu magezi gaayo, Katonda yayagala ng'ayita mu busiru bw'ekyo kye tuyigiriza alokole abo abakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda mu magezi ge, yalaba ng'ensi teyinza kumumanya ng'eyita amagezi gaayo, Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirisiru bw'okubuulira Enjiri okulokola abo abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda mu magezi ge, alaze nti abantu tebasobola kumumanya lwa magezi agaabwe, kyavudde asiima okuyita mu busirusiru bw'ebigambo bye tutegeeza abantu, alyoke alokole abo abamukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza.