1 Corinthians 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, mulabe nga bwe mwayitibwa, mu mmwe abagezi, ku bw'omuntu, temwali bangi, n'ab'obuyinza tebaali bangi, n'abakungu tebaali bangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abooluganda, mujjukire nga bwe mwali, Katonda bwe yabayita. Batono mu mmwe ensi be yandiyise ab'amagezi, batono abaali ab'obuyinza, era batono abaali abeekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi: