1 Corinthians 1:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda yalonda ababuyabuya mu nsi aswaze abagezi; abanafu mu nsi Katonda be yalonda aswaze ab'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, akwase abagezigezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ab'amaanyi ensonyi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda yalonda ebyo ensi by'eyita ebisirusiru, alyoke akwase ab'amagezi ensonyi. Era yalonda ebyo ensi by'eyita ebinafu, alyoke akwase eby'amaanyi ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi;