1 Corinthians 1:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo mu nsi abataliiko bwe bali, abagayibwa, omutali nsa, Katonda be yalonda okuggyawo abalimu ensa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yalonda ebyo ensi by'egaya era by'enyooma, era by'eyita ebitaliiwo, alyoke azikirize ebyo ensi by'eyita ebikulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo: