1 Corinthians 1:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye mwe mwava mulyoke mubeerewo mu Kristu Yezu, Katonda gwe yafuula amagezi gaffe, obutuukirivu bwaffe, okutukuzibwa kwaffe n'okununulibwa kwaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gyetuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu, n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mmwe Katonda yabagatta ne Kristo, gwe yafuula amagezi gaffe. Mu Kristo ono, Katonda mwe yatufuulira abatuukirivu, mwe yatutukuliza era mwe yatununulira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa: