1 Corinthians 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigezo ebibajjidde si bye bigezo ebitasangibwa buli muntu. Katonda mwesigwa, tayinza kubaleka kugezebwa mu bibayitiridde; na buli kigezo ekijja akiweerako ekkubo ery'okukivvuunuka, musobole okukigumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali kukemebwa okubatuukako okutali kw'abantu; naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.