1 Corinthians 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ŋŋamba ntyo mba ntegeeza ki? Mba ntegeeza nti emmere emponge kintu ekiri awo, oba nti lubaale w'ali ddala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Ekiweebwa eri ekifaananyi kintu, oba ekifaananyi kintu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?