1 Corinthians 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nedda! Bye batambira, babiwongera myoyo mibi, si Katonda. Saagala nno mwetabe na myoyo mibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda. kye ntegeeza kye kino nti ab'amawanga bye bawaayo bawa eri baddayimooni so si eri Katonda, nange ssaagala mmwe okubeeranga abasseekimu ne baddayimooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale.