1 Corinthians 10:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli aleme kwefaako yekka, naye afe ne ku bulungi bwa munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, afengayo ne ku bya munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.