1 Corinthians 10:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa omu mu batakkiriza abayita okulya, nammwe ne mukkiriza okugendayo, mulye kyonna ky'abaleetera awatali mmeeme kubalumira kintu na kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.